Genesis 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Goba omuzaana ono ne mutabani we; kubanga omwana w'omuzaana taliba musika wamu na mutabani wange Yizaake.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava agamba Ibulayimu nti, “Goba omuzaana ono n'omwana we kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, Isaaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saara n'agamba Aburahamu nti: “Goba omuzaana ono n'omwana we, kubanga omwana w'omukazi ono omuzaana tajja kugabana ku bya busika bwa mwana wange Yisaaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava agamba Ibulayimu nti Goba omuzaana ono n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, ye Isaaka.