Genesis 21:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Tonakuwala olw'okubeera omwana n'omuzaana wo. Kyonna Saara ky'anaakugamba kiwulirize, kubanga mu Yizaake ezzadde lyo mwe linaafuniranga erinnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Kireme okuba ekizibu gy'oli, olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo. Mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaamanyirwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Leka kunakuwala olw'omulenzi n'olw'omuzaana wo. Kola byonna Saara by'akugamba, kubanga mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu be nakusuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Ibulayimu nti Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo; mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.