Genesis 21:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu bwe yazuukuka ku makya, n'akwata omugaati n'endyanga ejjudde amazzi n'abissa ku kibegabega kya Agari, n'amuwa omwana, n'amusiibula. Agari n'agenda ng'atangatanga mu ddungu ly'e Beeriseba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, n'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amugamba agende. Awo Agali n'agenda, ng'abungeetera mu ddungu ery'e Beeruseba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emigaati n'ensawo ey'eddiba ejjudde amazzi, n'abiwa Agari ng'abimuteeka ku kibegabega, n'omwana, n'amugamba nti: “Genda.” Agari n'agenda, n'abundabundira mu ddungu ery'e Beruseba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'agolokoka eakya mu makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, ng'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amusindika: n'agenda, n'atambuliratambulira mu ddungu ery'e Beeruseba;