Genesis 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne yeeyongerayo akabanga, ng'akasaale akalasiddwa we kakoma, n'atuula awo yekka ng'agamba nti: “Sirina galaba mwana ng'afa.” Omwana n'asitula eddoboozi n'akaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agenda, walako ebbanga ng'akasaale we kagwa; n'atuula wansi ng'amutunuulira, kubanga yayogera nti, “Saagala kulaba omwana wange ng'afa.” N'atuula wansi ng'amutunuulira, n'akaaba n'eddoboozi eddene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agenda n'atuula walako ng'amutunuulira, mu bbanga lya mita nga kikumi, kubanga yagamba nti: “Ka nneme okulaba omwana ng'afa!” Bwe yatuula n'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agenda, n'atuula wansi ng'amutunuulira walako, ug'ebbanga akasaale we kagwa: kubanga yayogera nti Nneme okulaba omwana ng'afa. N'atuula ng'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. era n'emmunyeenye.