Genesis 21:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yawulira omwana ng'akaaba, malayika w'Omukama n'ayita Agari ng'ayima mu ggulu nti: “Agari obadde ki? Leka kutya, kubanga Katonda awulidde omwana ng'akaaba awo w'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; era malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n'amugamba nti, “Obadde ki, Agali? Totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi, era malayika wa Katonda n'ayita Agari ng'asinziira mu ggulu, n'amugamba nti: “Obadde ki, Agari? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; ne malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n’amugamba nti Obadde otya, Agali? totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali.