Genesis 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'afuna olubuto n'azaalira Yiburayimu omwana ow'obulenzi mu bukadde bwe, mu budde bwennyini Katonda bwe yali amulagaanyizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Mukama kye yamugamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi; Ibulayimu ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saara n'aba olubuto, n'azaalira Aburahamu omwana ow'obulenzi nga Aburahamu akaddiye, mu biro Katonda bye yamutegeezaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako.