Genesis 21:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Abimeleki ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye ne bagamba Yiburayimu nti: “Mu byonna by'okola Katonda ali naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Abimereki ng’ali ne Fikoli omukulu w’eggye lye n’agamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli ky’okola:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti, “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu biro ebyo Abimeleki ng'ali wamu ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye, n'agenda eri Aburahamu n'amugamba nti: “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola: