Genesis 21:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Layira mu maaso ga Katonda nti tolinsalira nkwe nze n'ezzadde lyange, na yenna owange, era nti oligirira ekisa nze n'ensi gy'olimu ng'omugenyi, ekifaanana n'ekyo nze kye nkugiridde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana w’omwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bw’olinkola nze n’ensi mw’ozze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale nno, ndayirira wano mu maaso ga Katonda nga tonkuusekuusenga nze, newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange; nga nze bwe nkukoledde eby'ekisa, naawe on'onkoleranga bw'otyo nze, n'ensi gy'olimu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno ndayirira wano mu maaso ga Katonda nti tonkuusekuusenga nze n'abaana bange, wadde bazzukulu bange. Naye nga bwe nkukoledde eby'ekisa, ndayirira nti onookolanga bw'otyo gye ndi n'eri ensi mw'oli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale nno, ndayirira wano Katonda nga tonkuusekuusenga nze; newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange: naye ng'ekisa bwe kiri kye nkukoze, naawe ononkolanga bw'otyo nze, n'ensi gye watuulamu.