Genesis 21:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki n'addamu nti: “Simanyi yakola kino; Ggwe wennyini tokimbuulirangako, ate nze mbadde sikiwulirangako okutuusa ku lwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abimereki n’amugamba nti, “Simanyi n’omu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lw’okintegeezeezza olwa leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'ayogera nti, “Simumanyi eyakola bw'atyo; so naawe tombuulirangako, era siwulirangako okuggyako leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki n'agamba nti: “Eyakola ekyo simumanyi, naawe tokimbuulirangako. Olwaleero lwe nsoose okukiwulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n'ayogera nti Simumanyi bw'ali eyakola bw'atyo; so tombuulirangako, so siwulirangako era, wabula leero.