Genesis 21:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko ye nti: “Kkiriza obuliga omusanvu bwe nkuwa, bwe bujulizi obukakasa nti nze nasima oluzzi luno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti nze nasima oluzzi olwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu zitwale, zibeere obujulirwa obukakasa nti nze n'asima oluzzi olwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'addamu nti: “Kkiriza nkuwe endiga ezo enduusi omusanvu, ekyo kiryoke kikakase ng'okkirizza nti nze nasima oluzzi olwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Endiga ezo eaduusi omusanvu onooziweebwa mu mukono gwange, ekyo kibeere omujulirwa gye ndi, nga nze nnasima oluzzi olwo.