Genesis 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'agamba nti: “Ani yandigambye Yiburayimu nti Saara alirera ku baana? Kyokka mmuzaalidde omutabani mu bukadde bwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Ani oyo eyandigambye Ibulayimu nti Saala aliyonsa abaana be? Naye laba kati, muzaalidde omwana ow'obulenzi ng'ankaddiye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'agamba nti: “Ani eyandigambye Aburahamu nti Saara oliyonsa abaana? Naye kati mmuzaalidde omwana ow'obulenzi, nga Aburahamu akaddiye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Aluwa oyo eyandigambye Ibulayimu nga Saala aliyonsa abaana be? kubanga mmuzaalidde omwana ow'obulenzi ng'akaddiye.