Genesis 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saara bwe yalaba mutabani wa Agari Omumisiri gwe yali azaalidde Yiburayimu ng'azannya ne Yizaake mutabani we, n'agamba Yiburayimu nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'azannya ne Isaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Saara n'alaba Yisimayeli, omwana Agari gwe yazaalira Aburahamu, ng'azannya ne Yisaaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'aduula.