Genesis 22:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo oluvannyuma, Katonda n'ageza Yiburayimu, n'amuyita nti: “Yiburayimu.” Ye n'ayanukula nti: “Nzuuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, “Ibulayimu!” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'ageza Ibulayimu, n'amugamba nti, “Ibulayimu;” n'addamu nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'ageza Aburahamu, n'amuyita nti: “Aburahamu!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'akema Ibulayimu, n'amugainba nti Ibulayimu; n'ayogera nti Nze nzuuno.