Genesis 22:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo malayika w'Omukama n'amuyita ng'ayima mu ggulu nti: “Yiburayimu, Yiburayimu.” N'ayanukula nti: “Nzuuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!” Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, ng'ayogera nti, “Ibulayimu, Ibulayimu;” n'ayogera nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'asinziira mu ggulu, n'agamba nti: “Aburahamu!” N'addamu nti: “Nzuuno!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Ibulayimu, Ibulayimu: n'ayogera nti Nze nzuuno.