Genesis 22:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Tokwata ku mwana. Tomukola kantu. Kati ntegedde ng'otya Katonda, tonnyimye mutabani wo, omwana wo omu yekka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Totta mulenzi, so tomukolako kabi; kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Omulenzi tomutta era tomukolako kabi. Kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo omu yekka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.