Genesis 22:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu bwe yasitula amaaso ng'awo alabawo seddume w'endiga ng'amayembe gaayo gawambidde mu kasaka; n'agiddira n'agitambira ng'ekitambiro ekyokye mu kifo kya mutabani we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge n'amagamaga, n'alaba emabega we endiga ensajja ng'amayembe gaayo gawagamidde mu kisaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba emabega we endiga ennume, ng'amayembe gaayo gawambidde mu kisaka. N'agenda n'agiggyayo, n'agiwaayo ebe ekitambiro ekyokebwa, mu kifo ky'omwana we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, ennyuma we endiga ensajja, ng'ekwatiddwa mu kisaka n'amayembe gaayo: Ibulayimu n'agenda n'atwala endiga, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa mu kifo ky'omwana we.