Genesis 22:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifo ekyo n'akituuma 'Omukama y'Anaalaba'. N'okutuusa ku lunaku lwa leero ye njogera nti: “Ku lusozi Omukama y'Anaalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire; nga bwe kyogerwa ne leero ku lusozi luno nti, “Mukama agaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'atuuma ekifo ekyo erinnya “Mukama ategeka.” Ne leero abantu bagamba nti: “Ku lusozi oluyitibwa ‘Mukama ategeka.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'atuuma ekifo kiri erinnya lyakyo Yakuwayire: nga bwe kyogerwa ne leero nti ku lusozi lwa Mukama kirirabwa.