Genesis 22:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Neerayidde nzennyini, Omukama y'agamba, kubanga okoze ekintu kino, n'otonnyima mutabani wo, omwana wo omu yekka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ndayira mu linnya lyange, olw'okubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Ndayidde mu linnya lyange, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo, omwana wo omu: