Genesis 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ddala nzija kukuwa omukisa, n'ezzadde lyo ndiriwa okwala okwenkana emmunyeenye z'eggulu, oba omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Ezzadde lyo liryekomya ebibuga by'abalabe baalyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa ezzadde ddene, liriba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era ezzadde lyo liriwangula abalabe baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era bazzukulu bo baliwangula abalabe baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango ogw'abalabe baabwe;