Genesis 22:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Ddira mutabani wo omu yekka gw'oyagala Yizaake, ogende mu nsi Moriya omuntambirire eyo ng'ekitambiro ekyokye, ku lumu mu nsozi lwe ndikulaga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Twala omwana wo Yisaaka, gw'olina omu yekka era gw'oyagala, ogende mu nsi Moriya, omuweereyo eyo abe ekitambiro ekyokebwa, ku lusozi lwe ndikulaga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.