Genesis 22:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Yiburayimu ne bamubuulira nti: “Ne Miluka azaalidde Nakori muganda wo abaana ab'obulenzi:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Mirika yazaalira muganda wo Nakoli abaana:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Aburahamu nti ne Milika yazaalira muganda we Nahori abaana:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nga boogera nti Laba, era Mirika naye yazaalira abaana muganda wo Nakoli;