Genesis 22:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu bwe yazuukuka ku makya, n'ategeka endogoyi ye; yatwala abalenzi be babiri ne Yizaake mutabani we, n'atema enku ez'ekitambiro ekyokye, n'asitula n'alaga Katonda gye yali amulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’atwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, n’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’asituka n’agenda mu kifo Katonda kye yamugamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera ku makya, Aburahamu n'agolokoka, n'ayasa enku ez'okwokya ekitambiro, n'ategeka endogoyi ye, n'atwala babiri ku baweereza be, ne Yisaaka omwana we, n'alaga mu kifo Katonda kye yamutegeezaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako.