Genesis 22:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba abalenzi be nti: “Musigale wano n'endogoyi, nze n'omwana ka tugendeko emitala eri; tujja kusinza ate oluvannyuma tudde gye muli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ibulayimu n’agamba balenzi be nti, “Musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'agamba abavubuka be nti, “Mubeere mmwe wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugenda eri tusinze, n'oluvannyuma tunadda gye muli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba abaweereza be nti: “Musigale wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugende wali, tusinze, n'oluvannyuma tudde gye muli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'agamba abawbuka be nti Mubeere mmwe wano n'endogoyi; nange n'omulenzi tunaagenda wali; ne tusinza, ne tudda gye muli.