Genesis 22:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira enku ez'ekitambiro ekyokye, n'azitikka Yizaake mutabani we; ye n'akwata mu ngalo omuliro n'ekiso. Ne bagenda bombi wamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka Isaaka mutabani we, ye n’akwata omuliro n’akambe, ne bagenda bombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'addira enku ez'okwokya ekiweebwayo n'azitikka Isaaka omwana we, ye n'atwala omuliro n'akambe; bombi ne bagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'addira enku ez'okwokya ekitambiro, n'azitikka Yisaaka, omwana we, ye n'atwalira omuliro n'akambe mu ngalo ze, ne bagenda wamu bombi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'atwala enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'azitikka Isaaka omwana we; n'atwala omuliro n'akambe mu ngalo ze; ne bagenda bombi wamu.