Genesis 22:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'ayita kitaawe Yiburayimu nti: “Taata.” Ye n'ayanukula nti “Wangi, mwana wange.” Ko ye nti: “Omuliro n'enku biibino, naye akaliga ak'ekitambiro ekyokye kaliwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'ayita Ibulayimu, kitaawe nti, “Kitange!” N'addamu nti, “Nze nzuuno, mwana wange.” Isaaka n'amubuuza nti, “Laba, omuliro n'enku biibino; naye omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'agamba Aburahamu kitaawe nti: “Taata!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno, mwana wange.” Yisaaka n'agamba nti: “Laba, omuliro n'enku biibino. Naye omwana gw'endiga ogw'okutambira guluwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'agamba Ibulayimu kitaawe nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; mwana wange. N'ayogera nti Laba, omuliro n'enku (biibino): naye guluwa omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa?