Genesis 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'agamba nti: “Mwana wange, Katonda y'anaalaba ekitambiro ekyokye.” Ne bagenda bombi wamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa.” Ne beyongerayo bombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'addamu nti: “Mwana wange, Katonda ye aneetegekera endiga ento ey'okutambira.” Bombi ne batambula ne beeyongerayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'ayogera nti Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa, mwana wange: kale ne bagenda bombi.