Genesis 22:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka ku kifo Katonda kye yali amulaze, Yiburayimu n'azimba omwaliiro, n'aguteekako enku, n'asiba omwana we Yizaake, n'amuteeka ku mwaliiro ku nku waggulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu n’azimba ekyoto, n’atindikira enku, n’asiba omwana we Isaaka, n’amuteeka ku kyoto ku nku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimba ekyoto, n'atindikirako enku, n'alyoka asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku nku eziri ku kyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka mu kifo, Katonda we yamugamba, Aburahamu n'azimba alutaari, n'ayaliirako enku, n'asiba Yisaaka omwana we, n'amugalamiza ku alutaari ku nku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimbira eyo ekyoto, n'atindikira enku, n'asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku Kyoto, ku nku.