Genesis 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efuroni Omukitti yali atudde awo mu Bakitti banne, n'amwanukula nga ne Bakitti banne abaali bazze ku mulyango gw'ekibuga kye bawulira, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Efulooni yali atudde wamu n'abaana ba Keesi; mu kifo ekikuŋŋaanirwamu mu mulyango gw'ekibuga, n'addamu Ibulayimu ng'abalala bonna bawulira nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Efurooni yennyini yali atudde wamu n'Abahiiti abalala, mu kifo ekikuŋŋaanirwamu ku mulyango gw'ekibuga. Efurooni n'addamu ng'abaliwo bonna bawulira nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulooni yali atudde wakati mu baana ba Keesi; Efulooni Omukiiti n'addamu Ibulayimu abaana ba Keesi nga bamuwulira, be bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga, ng'ayogera nti