Genesis 23:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'addamu Efuroni ab'eggwanga lye nga bawulira nti: “Nkwegayiridde, mpuliriza; nzija kukuwa ssente ez'ennimiro; zitwale, nsobole okuziikamu omufu wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Efulooni abantu ab'omu nsi eyo nga bamuwulira nti, “Nkwegayiridde wulira kye ŋŋamba, olusuku lwonna kkiriza ndugule omuwendo gwalwo omujjuvu nziikemu omufu wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Efurooni nga bannansi bawulira nti: “Nkwegayiridde, wulira kye ŋŋamba. Ennimiro yonna nja kugigula buguzi. Kkiriza ngisasule, nziikemu omufu wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Efulooni abantu ab'oImu nsi nga bamuwulira, ng'ayogera Inti Naye bw'onooyagala, nkwegayiIrira, ompulire: nnaasasula omuwendo gw'olusuku; gukkirize nkuwe, nange naaziika omwo omulambo gwange.