Genesis 23:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ssebo, mpuliriza; ettaka ligyamu sekeri eza ffeeza ebikumi bina. Ekyo kye ki ku nze naawe? Ziika mufu wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama wange, ompulire; akasuku akagula Essekeri eza ffeeza ebina (400) katono nnyo gye ndi. Katwale butwazi oziikemu omufu wo. Omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina (400) kintu ki eri nze naawe? Kale ziika omulambo gwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ssebo, wulira kye ŋŋamba. Akataka akagula ebitundu bya ffeeza ebikumi bina byokka, kakutawaanyiza ki? Ziikamu omufu wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama wange, ompulire: akasuku omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina kintu ki eri nze naawe? kale ziika omulambo gwo.