Genesis 23:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'ategereza Efuroni, n'apima ssente Efuroni ze yali asabye, nga Bakitti banne balaba, sekeri eza ffeeza ebikumi bina, ng'emiwendo bwe gyali mu basuubuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'akkiriza omuwendo Efulooni gwe yamugamba. Ibulayimu n'atoola effeeza bina (400) ng'ezomuwendo ez'obuguzi bwe ziri n'azimuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'akkiriza, n'apimira Efurooni ffeeza gwe yali ayogedde ng'Abahiiti bawulira: ebitundu ebikumi bina ebya ffeeza, ng'akozesa ekipimo ky'abasuubuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'awulira Efulooni; Ibulayimu n'agerera Efulooni effeeza gye yali agambye abaana ba Keesi nga bamuwulira, essekeri eza ffeeza bina, nga effeeza eya bulijjo ey'omuguzi bwe yali.