Genesis 23:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Yiburayimu n'aziika mukazi we Saara mu mpuku y'omu nnimiro y'e Makupela, okumpi ne Mamure, oba Keburoni, mu Kanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi y'e Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Aburahamu n'aziika mukazi we Saara mu mpuku y'omu nnimiro y'e Makupela, mu buvanjuba bwa Mamure, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule (ye Kebbulooni), mu nsi y'e Kanani.