Genesis 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'afiira e Kiriyati-Aruba oba Keburoni, mu Kanaani. Yiburayimu n'agenda okukungubagira Saara n'okumukaabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'afiira mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Ibulayimu n'amukungubagira, era n'amukaabira amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'afiira mu Kiriyati-Aruba, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu n'amukungubagira, n'amukaabira amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Saala n'afiira mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), mu nsi ya Kanani: Ibulayimu n'ajja okukungubagira Saala, n'okumukaabira, amaziga.