Genesis 23:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakitti ne bakakasa nti ennimiro n'empuku eyalimu bya Yiburayimu, butaka bwe bwa kuziikangamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe, okuba ekifo eky'okuziikangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennimiro n'empuku ebirimu, ebyali eby'Abahiiti, ne bifuukira ddala ebya Aburahamu eby'okuziikangamu abafu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe okuba ekifo eky'okuziikangamu.
Recommended Reading