Genesis 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ndi munnaggwanga era omugwira mu mmwe; mumpe akafo mu mmwe kabeere obutaka bwange obw'okuziikangamu, nziikewo omufu wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nze ndi mugenyi era mutambuze mu nsi yammwe; munguze ekifo eky'okuziikangamu abafu bange, kibe obutaka bwange mu nsi yammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndi mugwira era musenze mu nsi yammwe. Munguze ekifo eky'okuziikangamu abafu bange, kibe obutaka bwange mu nsi yammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze ndi mugenyi era mutambuze gye muli: mumpe ekifo eky'okuziikangamu okuba obutaka mu nsi yammwe, nziike omulambo gwange obutagulabangako.