Genesis 23:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'avunnamira bannansi b'ensi eyo, Abakitti,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’agolokoka n’avuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'asituka, n'avuunamira abaana ba Keesi, bannannyini nsi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Aburahamu n'asituka n'avuunamira Abahiiti,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'agolokoka, n'awunamira abantu ab'omu nsi, be baana ba Keesi.