Genesis 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Oba munzikiriza nziike omufu wange, kale mumpulirize, munsabire Efuroni mutabani wa Zokari
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nabo, n'abagamba nti, “ Nga bwe munzikirizza okuziika omufu wange, munneegayiririre Efulooni, omwana wa Zokali
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abagamba nti: “Bwe musiima nziike omufu wange, munneegayiririre Efurooni mutabani wa Zohari,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nabo, ng'agamba nti Bwe mwagala nze okuziika omulambo gwange obutagulabangako, mumpulire, munneegayiririre Efulooni omwana wa Zokali,