Genesis 24:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu kati yali akaddiye, ng'ayise mu myaka, n'Omukama mu byonna ng'amuwadde omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu yali ayitiridde obukadde, naye mukama yamuwanga omukisa mu bigambo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu yali akaddiye nnyo, era Mukama yali amuwadde omukisa mu byonna bye yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu yali akaddiye, ng'ayitiridde obukadde: era Mukama yawanga Ibulayimu omukisa mu bigambo byonna.