Genesis 24:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza mu ŋŋamiya za mukama we n'aggyamu kkumi, ne ku bintu bye byonna n'atoolako ebisinga obulungi, n'asitula n'alaga mu Aramu Nakarayimu, n'agenda ku kibuga Nakori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuddu n’atwala ku ŋŋamira za mukama we n’agenda ng’atutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. N’ayimuka n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu n'atwala kkumi (10) ku ŋŋamira za Mukama we, n'ebintu byonna ebirungi byaggye ewa mukama we, n'agenda e Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'atwala kkumi ku ŋŋamiya za mukama we, n'agenda e Mesopotaamiya, mu kibuga kya Nahori, ng'alina ebirabo byonna ebirungi, by'aggye ewa mukama we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu n'atwala eŋŋamira kkumi, ez'omu ŋŋamira za mukama we, ne yeegendera; ng'alina ebintu byonna ebirungi ebya mukama we mu ngalo ze: n'agolokoka, n'agenda mu Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli.