Genesis 24:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeegayirira nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu, nkwegayiridde, mpa mbeere n'omukisa olwa leero, girira ekisa mukama wange Yiburayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu, nkusaba ompe omukisa mu bye nnaakola olwaleero, era okolere mukama wange Aburahamu eby'ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.