Genesis 24:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo nnyweko,’ amala ayanukula nti: ‘Nywa, n'eŋŋamiya zo nzija kuzisenera zinywe,’ abeere oyo gwe wategekera omuweereza wo Yizaake. Ku ekyo kwe nnaategeerera nti mukama wange omugiridde ekisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde, ssa ensuwa yo ompe ku mazzi nnywe;’ n'agamba nti, ‘nywa, era n'eŋŋamira zo n'azisenera nezinywa;’ abeera nga ye oyo gw'olondedde omuddu wo Isaaka. Ekyo kwe naategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo, ompe ku mazzi nnywe,’ n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera ne zinywa,’ nga ye oyo gw'olondedde omuweereza wo Yisaaka. Ekyo kwe nnaategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n'enhamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng'olaze ekisa mukama wange.