Genesis 24:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali tannamalayo bigambo ebyo nga ku Rebekka ono, muwala wa Betweli, mutabani wa Miluka muka Nakori muganda wa Yiburayimu. Yali afuluma; yali yeetisse ensuwa ku kibegabega.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika, mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'akyayogera, Rebbeeka n'atuuka ng'asitulidde ensuwa ye ku kibegabega kye. Rebbeeka ono, yali muwala wa Betweli omwana wa Milika muka Nahori, muganda wa Aburahamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika; mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye.