Genesis 24:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omuweereza n'ayanguwa mangu okumusisinkana, n'amwegayirira nti: “Mpa nnyweko katono ku tuzzi tw'omu nsuwa yo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuddu n’ayanguwa n’amusisinkana, n’amugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amugamba nti, “nkwegayiridde, Mpa ku mazzi nywe okuva mu nsuwa yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'adduka okumusisinkana, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mazzi mu nsuwa yo nnyweko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'ayogera nti Onnywese, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo.