Genesis 24:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Nywa, ssebo.” Amangu ago n'assaako wansi ensuwa mu mikono gye, n'amuwa anywe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago n’assa ensuwa mu mikono gye, n’agikwata mu mukono gwe n’amuwa amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuddamu nti, “Nywa, mukama wange;” n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe n'amunywesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rebbeeka n'agamba nti: “Ssebo, nywa.” Amangwago ne yeetikkula ensuwa ku kibegabega, n'agikwata mu mikono gye, n'amuwa okunywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nywa, mukama wange: n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe, n’amunywesa.