Genesis 24:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okunywa, Rebekka n'amugamba nti: “N'eŋŋamiya zo nzija kuzisenera zinywe, okutuusa nga zonna zinywedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti, “Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yamala okumuwa okunywa, n'agamba nti: “Ka nsenere n'eŋŋamiya zo, nazo zinywe zikkute.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute.