Genesis 24:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'agamba omuweereza asinga mu maka ge, omuwanika w'ebintu bye byonna, nti: “Teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'agamba omuddu we omukulu era eyafuganga byonna bye yalina nti, “Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Aburahamu n'agamba omuweereza we asinga obukulu mu nnyumba ye era eyalabiriranga byonna nti: “Teeka ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'agamba omuddu we, omukulu w'ennyumba ye, eyafuganga byonna bye yalina, nti Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange;