Genesis 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayiwa amazzi mu byesero, n'addayo mangu ku luzzi asene amazzi; eŋŋamiya zonna n'azisenera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo n’ayanguwa n’ayiwa ensuwa ye ey’amazzi n’agimalira mu kyesero, n’adduka n’asena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'adduka nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayanguwako, amazzi agaali mu nsuwa ye n'agafuka mu kyesero, n'adduka n'addayo ku luzzi, n'asenera eŋŋamiya z'omusajja zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'addukana nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna.