Genesis 24:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye omuweereza yalinga amutunuulidde ng'asirise, ng'ayagala okumanya oba Omukama olugendo aluwadde okulama, oba nedda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omusajja ng’asirise ng’amwekaliriza amaaso okumanya obanga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nedda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nga taluwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'amwekaliriza amaaso mu kasirise, okulaba oba nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo Iwe omukisa oba nga tawadde.