Genesis 24:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋamiya bwe zaamala okunywa, omusajja n'aggyayo empeta ey'omu nnyindo eya zaabu ezitowa beka emu, n'obukomo bubiri nga buzitowa sekeri za zaabu kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta ya zaabu ey’oku matu erimu gulaamu ttaano n’obutundu musanvu n’ebikomo ebya zaabu bibiri eby’oku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano n’abiwa omuwala abyenaanike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n'addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi (10) eza zaabu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eŋŋamiya bwe zaamala okunywa, omusajja n'aggyayo empeta eya zaabu enzito, n'obukomo bubiri obunene era obwa zaabu, obw'okwambala ku mikono gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi eza zaabu;