Genesis 24:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bw'agamba nti: “Omukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu atenderezebwe, oyo ataggya kisa kye na bwesige bwe ku mukama wange, antereerezza olugendo n'antuusa mu nnyumba y'eŋŋanda za mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange; nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu atenderezebwe, kubanga alaze nga bw'ayagala mukama wange, era nga bw'ali omwesigwa gy'ali. Ate nange Mukama annuŋŋamizza n'antuusa mu maka ga baganda ba mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange: nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange.